Botanix - Ekitabo ekikwata ku bimera

Botanix Luganda

Okusiimba obutiko obuzungu

Obutiko obuzungu bwa tuttumu nnyo ensangi zino n’okusiinga obutiko obwabulijjo! Bw’obugerageranya ku butiko obwabulijjo (champignon mushroom)!, buno obutiko bulina omugaso gumu ogw’amanyi – tegubuzibwabuzibwa na butiko bwa buttwa (Amanita phalloides).

Olw’okusatu 21.9.2011 21:21 | Fulumya mu kyapa | Obutiko

Okusimba emiyembe okuva mu nsigo

Olina okusimba ensigo ezakakungulwa zisobole okuva mu ttaka obulungi. Nnyika ensigo mu mazzi agalina ebugumu lya 20–25 °C okumala essaawa nga 2 –6.

Olw’okusatu 21.9.2011 15:42 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu, Endagiriro ku kusimba ebimera

Omuti gw’olubalama lwa Buyindi (Pongamia pinnata)

ekifaananyi

Pongamia pinnata

Omuti gw’olubalama lwa buyindi Pongomia pinnata (Amanya amala guyitibwa: Honge, Pongam, Panigrahi) muti gwa bikoola binene nga guwanvuwa mita 15–25, era nga guli mu kika kya Fabaceae. Gugejja wagulu era nga gubeera n’obumuli obutono obuli mu langi enjeru, eyapinka wamu ne kakobe. Gusibuka Buyindi era nga gulimibwa nnyo mu maserengeta ga Asia.

Olw’okusatu 21.9.2011 01:18 | Fulumya mu kyapa | Amazzi n’ebirime eby’omumazzi

Kitengejja w’abayindi (Nelumbo nucifera)

ekifaananyi

Ekimuli kya Kitengejja w’abayindi

Kitengejja w’abayindi (Nelumbo nucifera) kimera kirungi ekikulira ku mazzi era nga kirina ebikoola ebitengejjera ku mazzi ebya langi eya kippapaali. Ebimuli ebya kakobe bitera kusangibwa ku matabi g’ekimera kino agaviira ddala wansi mu mazzi. Mu diini y’e Kibudda, ekimuli kino kitwalibwa nga kyamuwendo nnyo kubanga kikozesebwa nnyo ku mikolo gy’okusinza. Ekimera kino kyon kiribwa newankubade nga ensigo n’emirandira byebisinga okuliibwa mu bukiika ddyo bw’obuvanyuba bwa semazinga Asia. Kitengejja ono asobola okusimbibwa engeri y’emu nga ekimuli kya liili ekiwunya akawoowo. Si kizibu nnyo okusimba ekimera kino mu mbeza zaffe, omuntu alina kumanya kya kukola kyoka!

Olw’okubiri 20.9.2011 21:13 | Fulumya mu kyapa | Amazzi n’ebirime eby’omumazzi

Okusimba ettungulu ly’ekimuli wamu n’ensigo yakyo

Jjamu ettungulu n’ensigo ebikuweredwa okuyita mu posta okuva mu nsawo yabyo, olwo obireke mu kisikirize okumala ennaku nga 2 oba 3. Oba osobola okusimbirawo wabula olwo oba olina okukikuumira mu kisikirize kireme kugendako musana.

Olw’okutaano 5.8.2011 23:12 | Fulumya mu kyapa | Endagiriro ku kusimba ebimera

Continue: 1-5 6-10 11-15 16-20 21-21

Ebifa ku KPR

KPR – Ekibiina ky’abalimi mu Slovakia
KPR – Ekibiina ky’abalimi kye Kibiina ekigata abalimi mu nsi yonna. Soma ebisinga...
Gabana okumanya kwo mu kulima ebimera. Wandika ku bulimi, ebimera, ennima y’ebimera, n’ebirala. Era obikube mu Botanix eri mu lulimi lwo! Tutukirire okumanya ebisingawo.

Category: Byona Amazzi n’ebirime eby’omumazzi Ebimera ebizungu Ebinazi Ebiwuka Endagiriro ku kusimba ebimera Obutiko Omuddo